Deuteronomy 19:2-13

2weeyawulirangako ebibuga bisatu
ebibuga bisatu Bino byali bibuga bisatu ebirala eby’okuddukirangamu, nga biri mu bugwanjuba bwa Yoludaani.
nga biri wakati mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya.
3Okolanga enguudo eziraga mu bibuga ebyo; ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ogyawulangamu ebitundu bisatu, kale buli anattanga omuntu anaddukiranga mu kimu ku bibuga eby’omu bitundu ebyo.

4Etteeka lino likwata ku muntu anattanga munne nga tagenderedde kubanga anaabanga tamulinaako kiruyi kyonna, oyo eyasse anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo awonye obulamu bwe. 5Ekyokulabirako kiikino: Singa omuntu agenda ne munne okutema omuti mu kibira n’embazzi, naye ng’abadde agiwuuba ateme omuti, embazzi n’ewanguka mu kiti kyayo, n’etema munne n’afa, eyasse anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n’atattibwa.

6 bEbibuga ebyo tebisaanira kuba wala nnyo, kubanga oli ayagala okuwalanira omufu eggwanga bw’anaafubanga okugoba eyasse embiro okutuusa ng’amukutte, aleme kusobola kumukwata, naye n’amutta, songa eyasse oli yali tagenderedde kutta munne, kubanga ku bombi tekwaliko mulabe wa munne. 7Kyenva nkulagira okweyawulirangako ebibuga bisatu. 8Mukama Katonda wo bw’anaakugaziyirizanga amatwale go, nga bwe yalayirira bajjajjaabo, n’akuwa ettaka lyonna lye yasuubiza bajjajjaabo, 9 ckasita onookwatanga amateeka gonna ge nkulagira leero, kwe kwagalanga Mukama Katonda wo, n’okutambuliranga mu makubo ge, kale ku bibuga bino ebisatu onooyongerangako ebirala bisatu. 10 dEkyo onookikolanga okuziyiza omusaayi gw’omuntu ataliiko musango okuyiikira obwereere mu nsi yo Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, omusaayi oguyiise gulemenga kubeera ku ggwe.

11 eNaye omuntu bw’anaabanga n’ekiruyi ku munne, n’amwekwekerera n’amutta, n’alyoka addukira mu kimu ku bibuga ebyo, 12abakulembeze abakulu ab’omu kibuga ky’omutemu, banaamutumyangayo ne bamuggyayo, ne bamukwasa anaabanga agenda okuwoolera eggwanga ery’omusaayi gw’omufu, omutemu n’alyoka attibwa. 13 fTomusaasiranga. Kikugwanira okumalirawo ddala mu Isirayiri okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, olyoke obeerenga bulungi n’emirembe.

Copyright information for LugEEEE